Job 29:12-17

12 akubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,
n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 bOmusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,
ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 cNe nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,
obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 dNnali maaso g’abamuzibe
era ebigere by’abalema.
16 eNnali kitaawe w’abanaku,
ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 fNamenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.
Copyright information for LugEEEE